Okulowooza n'obwegendereza yengeri y'okusalawo
nobwegendereza ate nobumalirivu ku kintu kyetugenda okola.
Byajibwa mu Okulowooza
n'obwegendereza bya: Moore and Parker.
Amakubo mukulowooza n'okuyiga
n'obwegendereza
Webuuze ebibuuzo bino wammanga:
- Omulamwa guluwa?"
- Omuwandiisi akomekerezza atya ku mulamwa?"
- Omuwandiisi awadde nsonga ki alyoke asalewo ku kyawandiika?"
- Wegendereze kuba oyinza okusalawo obubi okugeza nga oyita mu
kutya, okwesasira, okweyambisa obubi ebyo kwosinziira okusalawo.
- Omuwandiisi yeyambisizza ebyo ebituufu mukusalawo kwe.
- Ekituufu kyangu okuzuulwa
- Ebirowoozo sibyangu kutugerekeka butuufu bwabyo naye nga
biyinza okuba ebituufu oba ebikyamu.
- Omuwandiisi akozesezza lulimi ki. Okugeza alaze nnyo nti
kyayogerako kiva mutima era akisimbyeko nnyo amanyo oba nedda?
- Abasoma n'obwegendereza betaaga okusussa olulimi luno amaso
basobore okumanya oba ensonga ntuufu.
Bino byebimu kwotegerera abo abalowooza
n'obwegendereza.
- Bamanyi bulungi obwomuntu bwabwe, tebatera kwerimba.
- Sibangu bakozebwa bantu balala balina bigendererwa ebikyamu.
- Kizibu okubabuzabuza.
- Babuuza ebibuuzo.
- Okusalawo kwabwe bakwesigamya ku kituufu kyebamanyi.
- Batera okufanaganya byebayiga bwebatyo nebazuula biki ebibigatta awamu.
- Mumagezi basobola okwetengerera.
Byajibwa mu Okulowooza n'obwegendereza ekya Vincent Ryan Ruggiero
"Engeri
Y'okuyiga N'obukodyo Bwakwo"
Study Guides and Strategies:
ekifo kino ku web kirabiriwa:
Joe
Landsberger © since 1996
Byavunulwa Francis Ssennoga
It is an educational
public service collaboratively maintained across institutional and national
boundaries, and revised on an on-going basis. Suggestions, comments, critiques,
etc. are warmly welcomed in the interest of helping learners worldwide.
Additional contributions and translations are warmly received.
Permission is granted to freely copy, adapt, print, and
distribute Study Guides in settings that benefit learners. No request to
link is necessary. Please link rather than copy content into web sites.
Joe's professional
and personal webpages