Okozesa obulungi ebiseera kwekutegeka n'okugoberera
ebiseera byo by'oba opimye mukuyiga osobole okutukiriza ebigendererwa byo wadde
nga waliwo obuvunanyibwa obulala nga amaka n'ebirala.
Amakubo mukino:
- Londoola enkozesa yebiseera byo.
- Lowooza ku ngeri gyokozesa mu obudde bwo.
- Zuula mangu obubonero obulaga nti otandise okwonoona ebiseera byo.
- Manya ddi lwoba oganyulwa mu biseera byo.
Okumananya enkozesa y'ebiseera byo kikuyamba okugerageranya ddi
lwonomala emirimu gyo egy'okuyiga.
- Wandiika wansi ebyo by' onokola kikuyambe okumanyi kiki ekinakolebwa
leero, enkya oba mubiseera eby'omaso oba ebyo by' onetaagamu obuyambi
okuva mu banno.
- Pima obudde nebyokkola buli lunaku nebuli wiiki. Wandika wansi abo
bonosisinkana, byonosoma nebirala. Manya ki ekinaddako buli ddakiika
ate togenda kwebaka nga tonamanya kyonakola nkeera.
- Wandika wansi ebyo byoyagala okkola mu maaso. Lamba ku
kalendaliyo ekyo kikuyambe okugerageranya obudde bwo obweddembe.
Okutegeka okulungi okw' ebiseera by'okuyiga:
- Funa otulo otumala, lya bulungi ate wegayazemu oba okugenda nga
kumizannyo nga egyo.
- Sengeka emirimu okuva ku gusinga obukulu paka ku gusembayo.
- Wetegekere ekibiina nga bukyali nga oyisaamu mu by'onosoma.
- Tegeka wo obudde oyise mu byosomye mu kibiina nga wakkiavamu ;
Jukira nti okwelabira kutera kubaawo oluvanyuma lw' essawa abiri mu
nnya(24).
- Tekegeka eddakiika ataano ataano ez' okuyiga.
- Somera wotataganyizibwe.
- Gezako okozesa ebiseera by' oyonoona.
- Singa kutegeka kusomera mu budde bwa misana.
- Tegeka wo okuyisa mu by'osomye ku nkomerero ya week. Schedule a
weekly review
- Wegendereze tofuuka omuddu wentegeka yo, anti nga tekuwa mirembe.
Genda ku
Okutegeka ebigendererwa/n'ebiseera
Try the University of Minnesota'
Assignment Calculator
"Engeri
Y'okuyiga N'obukodyo Bwakwo"
Study Guides and Strategies:
ekifo kino ku web kirabiriwa:
Joe
Landsberger © since 1996
Byavunulwa Francis Ssennoga
It is an educational
public service collaboratively maintained across institutional and national
boundaries, and revised on an on-going basis. Suggestions, comments, critiques,
etc. are warmly welcomed in the interest of helping learners worldwide.
Additional contributions and translations are warmly received.
Permission is granted to freely copy, adapt, print, and
distribute Study Guides in settings that benefit learners. No request to
link is necessary. Please link rather than copy content into web sites.
Joe's professional
and personal webpages